St.Martin S/S

ST. MARTIN S.S.S JJANYA DAY AND BOARDING CO-EDUCATIONAL

“O” AND “A” LEVEL

 

SCHOOL MOTTO:             STRIVE FOR EXCELLENCE

SCHOOL MISSION:            Okulabirira n’okubasomesa mu ngeri esinga okuba  ey’omulembe nga baweebwa  amagezi agasinga okuba agomulembe okubasobozesa okuba aboomugaso.

        • SCHOOL VISION:                Okuwa abayizi obukugu mu byeddini, okuyiga embeera z’abantu okubasobozesa okuba
        • abalungi mu maaso.
  •  
        • EBYAFAAYO BY’ESSOMERO:
        • Essomero lyatandikibwa ekigo kye Mpigi mu 1988 nga ligenderera okusomesa eddini mu Abaana wamu
        • n’ebyessomero (Academics). Essomero liddukanyizibwa (Board of Governors) akakiiko akafuzi akakasibwa ofiisi
        • yeby’enjigiriza mu busumba bwe Kampala e Rubaga. Akakiiko ako kayambibwako akagatta abasomesa wamu
        • n’abazadde (P.T.A) era nga kalondebwa bazadde era nga omulimu gwako kwe kulondoola enzirukanya
        • y’essomero. Obukiiko buno bwombi buufuna obuyinza obujjudde okuva mu Busumba bwa (Kampala Arch-diocese
        • Rubaga) obutandisi bw’essomero. Essomero lirina abasomesa abatendeke ate bategeera kye bakola bwe batendeka
        • abayizi mu ngeri ezenjawulo okusobola okufuna abantu abalungi mu ddini, empisa, n’obufuzi (prefect body).
  •  

OKUYAMBA BAMULEKWA N’ABAALI ABAANA BOKUNGUUDO:

Nga tukolagana n’ekitongole okuva mu Bugirimani ekiyitibwa Uganda Kinderhilfe (UKIHI). Tusobodde okuyamba bamulekwa n’abaana abaali abokunguudo. Tusobodde bulungi okubasomesaza wamu n’abaana bannabwe era nga kati beeyisa bulungi atenga n’ensoma yabwe nnungi ddala. Omwaka guno, omu ku bamulekwa betuyamba asobodde okwesogga ssettendekero wa Kyambogo era ng’akola bulungi ddala.

 

Abaana abaali abookunguudo basobodde bulungi okusoma ne banaabwe olwensonga zino;

 

    • i)                    Obuyambi obumala obwa buli ngeri obutuweebwa mikwano gyaffe Abagirimani (UKIHI).
    • ii)                   Okuba n’ebikozesebwa ebimala mu ssomero
    • iii)                 Eggezeserezo lya ssayansi (Laboratory) eririna buli kye taagisa era nga nalyo lyatuweebwa (UKIHI).
    • iv)                 Ebikozesebwa ebirungi nga;-
    • Amaasanyalaze g’amannyi g’enjuba (solar)
    • Amazzi agali mu ssomero munda (Running water)
    • Eby’okulya ebirungi ddala era nga bituweebwa UKIHI era bibayamba;-
    • Okuzza obwongo bwabwe obuggya.
    • v)                  Abasomesa abalungi era nga bebakyasinga mu Uganda.
    • vi)                 Okusomesabwa okulungi anti abasomesa baffe abamu bakola n’ekitongole ky’ebigezo (UNEB Examiners)
    • vii)               Okubawa ebibuuzo byokwegezaamu mu budde obugere
    • viii)              Okuwa ebirabo eri abayizi ababa basinze bannaabwe mu kusoma.
    • ix)                 Okwenyigira mu by’emizannyo anti tulina n’ebikozesebwa mu byemizannyo ebyatuweebwa UKIHI.
    • x)                  Okuyamba abayizi nga bateekebwamu omutima omusomi.
    • xi)                 Embeera abayizi mwebasomera esikiriza
    • xii)               Okukubaganya ebirowoozo n’abasomesa baabwe ku bye basoma.
    • xiii)              Ate n’ekisinga obukulu kwe kuba nti waliwo enkolagana ennungi wakati w’abakulembeze b’essomero n’abasomesa so nga ate bafaayo ate nga bawuliriza.
  •  

Wegatte ku ST. MARTIN, kola namanyi obe mukakafu nti obuwanguzi oli nabwo.

“Webale nnyo”