St.Mary P/S
DSCN5854

Madame Beatrice Olinga

Headmistress

ST. MARY’S JJANYA PRIMARY SCHOOL

P.O BOX 6 MPIGI (U)

1.1  EBYAFAAYO

 Essomero lino lyatandikibwaawo mu Mwaka gwa 1938 ng’akasomero akatono sub- grade akatandikirwaako nga kali mu mikono gya “Minsani be Ekelezia”. Akasomero kano kaali  kasomesa ebizibu by’omuddugavu ebisatu (3) ebimanyidda: !Endwadde 2.Obwavu 3. nga era lisomesa okusoma, okubala, n’okuwandiika (3Rs). Essomero lino lyalina ebibiina bibiri byoka, oluvanyuma, baazimbawo amasomero abiri nga gapulayimale, nga gabibiina mukaaga. Erimu nga lyabalenzi n’eddala nga ly’abaana abawala.

Olwaleero, elyali ery’abalenzi kati ye “Pulayimale” ate eryali ery’abawala kati lye lya Siniya ey’abawala n’abalenzi (lyakintabuli). Omulimu gw’okuzimba essomero lino gwaaliguwomeddwamu omutwe omussasselodooti amanyiddwa nga Rev. Cypus okuva e Italy.

 

Mu 1964, amasomero gombiriri gagatwa wamu okukola essomero eraywamu eddene. Era kakati essomero liri mumikono gya gavumenti kyokka siryaakisulo.

 

1.2 WERISANGIBWA

  St. Mary’s Jjanya primary school lisangibwa mu Muluka gw’e Konkoma mu Mpigi Town Council, mu Ssaza lya Ssabasajja erye Mawokota mu Mpigi District. Liri ku Mayiro 24 zokka ku Lugundo mwaasanjala olw’e Masaka – Kampala.

 

Essomero lino okusinga lirabirira nnyo abaana abawejjere abatasobora kugenda mu  gabbeyi. Essomero lirina olukiiko olukiiko oluriddukanya, era luyitibwa: The School Management Committee,” era nga lwakasavu kanyama (mulimu abaami n’abakyala).

 

Okukiiko luno luliko abakiise (12) kkumi n’ababiri- bonna awamu , era bebano wammanga;

  • Abataano kubo bebakiiririra bannayini ssomero (Eklezia “Foundation body” kuno nno  nga kwekuli n’akulira olukiiko luno. Era ngaliko kati ye Mw. Kizito dick.
  • Omukiise omu (1) akiikirira olukiiko lw’e Kyaalo (LCI)
  • Omukiise omu (1) akiikirira omuluka
  • Omukiise ome (1) akiikirira Ggombolola.
  • Omukiise omu (1) akiikirira akakiiko k’abazadde akayitibwa PTA.
  • Omukiise omu (1) akiikirira abasomesa mu ssomero eryo.
  • Omukiise omu (1) akiikirira abo abaayitako mussomero elyo bonna abalenzi (OBS) n’abawala (OGS)
  • N’omulala omu (1) n’akiikirira District.
  • Abantu abo bonna bwebatyo bwebaddukanya essomero nga buli omu akiikirira ekyo ekimwoogeddwako.

Omwaka guno tulina abayizi bano;

1. Abawala bali  409

2. Abalenzi bali  417

Omugatte   826

 

Abaana bonna  babadde nabasomesa kumi naabana bokka (14)!! Ekivvunulwa nti wakyaliwo okusoomozebwa kubuli musomesa n;abaana baasomesa. Abasomesa bano bonna basasulwa  government buli mwezi, mu nsimbi eziggwira mu mwezi  bafuna US $ 106 zokka.

Emyaka gyetukubye amabega abayizi babadde nga basimba kasooli n’oluvanyuma netufunamu obuwuga bw’obuwunga naye nga “Uganda Kinderhilfe Regensbrg” be batuyamba okuteekamu ensimbi oba sikyo tetwandisobodde! Naye kati tekikyasoboka olwembeera yobudde eteri nnungi.

Twebaaza nessekwebaza aba Uganda Kinderhilfe olwobuyambi bonna obwenjawulo eri  essomero lino. Kubanga ng’ojjeko obuugi, baatumaliriza ennyumba yaffe munnafe Andrew nga yeyasookeraddala okujja gyeyasanga  tenakomererwa!! Era nga kati banaffe aba  Kinderhilfe bwebeba bazze mwebasula, twagifuula yabagenyi oludda olumu.

 

Era mungeri yemu baatugulira entamu bbiri (2) ezifumba obuugi bw;abayizi. Tebaakoma okwo, nebatugurirayo enkumbi 50 (amakumi ataano). Omwaka guno batuzimbiddeyo  ekizimbe (ennyumba) endala ey’ebisenge ebina (4) eya basomesa babiri.

 

Mukitundu kino bamulekwa bangi nnyo ate babeera n’abantu abakadde ennyo ate nga balukyolo!! Nga kino kireetebwabulwadde bwa “AIDS” Sirimu nga bwetwabukazaako.

 

Abaana banno abatalina buyambi bali wakati we Myaka 5-14.

 

Oluusinoluusi n’emmere eka bagifuuwa mu gombe! Naddala kuntandikwa y’oMwaka guno we twalumbirirwa ekyeya ekyaamanyi. Kinderhilfe y’emu yatuyamba okututeerawo nayikondo ekorela ku manyi g’enjuba okutuyamba. Ku kizibu kyamazzi ffe essomero ate n’abantu b’ekitundu okutwalira awamu.

Omwaka guno batuwaddeyo emmeza za offise bbiri kabada bbiri, entebe za plastic kumi ne mmeza z’abasomesa bbiri, okulongoosa olubalaza n’okusiiga langi mu bibiina bisatu.